Version: 1.1

Okwatula ebibi n'okwenenya

Okuwulila amazima agatukilide kizibu, okusingira ddala amazima ago nga gatukwatako era nga ganatwetagisa okukyuka. Awamu, kitusingira ffe okw'ogera ku bizibu ebiri mubulamu bw'abalala era n'okogera ku kiiki kyebatekedwa okukyusa; naye singa mu mazima tutunulira obulamu bwaffe, tusobola okufuna ebilowozo, ebigambo, oba ebikolwa ebitali birungi mu ffe.

Mukiffo ky'okugumila amazima, tweyisa emu kungeri zino. Ebisera ebisinga tweyisa mubutafayo eri ekizibu ekyo. Twelera bulikimu kyonna mukasasilo era netugezako okukweka ekibbi ekyo. Tweyisa ob'olyawo nga awatali kibadewo kubanga tuyina amalara manji okusaba okusonyiyibwa oba kubanga tulina ensonnyi.
Oba tweyisa mungeri ey'okwegerageranya kubalala era netukomenkeleza nga tuli balungiko okusinga abalala: “Sikibbi nyo. Ffenna tulibantu.” Ekisembayo, twetukuza nga tunenya embera oba eby'emabega nga tugamba nti tetulina ky'akusalawo.

Engeri zino zezimu kubilaga okw'egulumiza kwaffe era n'okugezako kwaffe okwelokola. Naye mubyadala bino bitukulembera mumakubo agatalimu bwenkanya era tutondawo ebintu eby'obulimba okuziyiza amazima okumanyika. Tubelawo n'okutya kw'amazima okulabisibwa mu kitangala. Mukisera kyekimu, tuganya endowoza zaffe okw'esulilayo gwanagamba era, tulaba kitona dala mungeriki gyetwekosamu n'abalala.

Omuntu yenna akweka ebibbi bye tawangula. Naye oyo yenna akiliza ensobize n'azesonyiwa afunna okusasilwa. (Ngero 28:13)

Ekibbi kyeki?

Okusokela dala, ekigambo “kibbi” kikozesebwa okutegeza amanyi agafuga ensi n'abantu. Kulw'ekibbi twayawulibwa ne Katonda, naye Ye Katonda atuwa engeri ey'okufunamu edembe okuva mu manyi ag'ekibbi. Bwetulondawo engeri eyo, Ajjakutuwa obulamu obujja-tufuke “balokole”.

Bw'oba nga toli mulokole oba nga tewekakasa: Yitta mububaka bunno “Olugero lwa Katondas” ne “Okubatizibwa” obunyonyola kungeri ey'okuzalibwa obujja mu bulambulukuffu.

Eky'okubili, ekigambo “kibbi” kisobola okutegeza, okuvola kw'omuntu eri ebilagiro bya Katonda. Katonda yeka yalina olukisa okunyonyola ekilungi ky'ekiliwa oba ekibbi ky'ekiliwa. Katonda atadewo amateka agakola kulw'obukumi bwaffe. Ekibbi tekili ku neyisa zokka. Ebikolwa byaffe bisibuka okuva mundowoza zaffe n'okuyayanira kwaffe. Yesu anyonyora kino mu Mataayo 5:27-28: “Muwulide nti ky'agambibwa nti, 'Temuyenda nga.' Naye Nze mbagamba nti buliyenna atunulila omukazzi n'amwegomba amaze okwenda ku mukazzi oyo mu mutima gwe.”

Katonda ayagala tubere nga tetulina kunenyezebwa (Mataayo 5:48). Ekyo kitegeza nti tekili kuba nga wewala ebikyamu, naye n'okutwala obuvunayizibwa ku kukola ekitufu: “N'olyekyo bw'obanga omanyi ekilungi ky'oyina okukola n'otakikola, oyonona.” (Yaakoba 4:17).
Mubuufunze, ekibbi ndowoza, bigambo, era bikolwa ebikontana n'eddala lya Katonda.

Ebiva mu kw'onona

Tusobola okw'eyonona, eri abalala n'eri Katonda. Buli kibbi kyonna kyetwekolako n'eri abalala kimenya amateka ga Katonda mungeriki gyetuyinza okukolagana n'abantu abalala. N'olw'ekyo ekyo kibbi n'eri Katonda. Ebiva mu kw'onona bisobola okuba eby'enkizo oba sinnyo, okusinzila kw'ani akosedwa: Ky'abade mundowoza zange? Ninna kyenakoze nekiletela abalala okulumwa? Oba ninna abalala benatute mu kw'onona?

Bwetutakola Mukama Katonda ky'ayagala, tukola sitani ky'ayagala. Ye sitani ayagala ekyo ekikontana n'okwagala kwa Katonda. Bwetonona, tugula olujji eri sitani era netumuganya okuyingilira obulamu bwaffe. Okukyawula: Ekibbi kileta ekikolimo (eky'okulabilako: omuntu ayonona yelalikilira; omululu guleta obutakusibw; empulira ya gunsinga etusanyalaza). Engeri yoka okuva mu kikolimo ekyo n'okugala olujji nate kwekwatula ekibbi era n'okukyuka okukivamu.

Emitendera gy'okwenenya

Pray at the beginning: God, open my eyes to see my sin as you see it.

1. Okumanya ekibbi

Nkoma okutukuza ku nsonga era n'enfukira ddala mweluffu: Kyenakoze ky'abade kikyamu. Ekibbi kyange sikantu katonno okumalagakileka, naye kiyina obulabe gy'endi n'eri abalala. Kati ntwala obuvunanyizibwa kw'ekyo.

2. Okwatula ekibbi

Nzikiliza omusango gwange eri Katonda era nensaba ekisonyiwo. Bwemba nga nsobeza eri abantu abalala, njatula ebibbi byange gyebbali era. N'ensaba okusonyiyibwa.

3. Okuzimba enkolagana

Singa abalala baali bakosedwa n'okonona kwange, netagga okukola ekisoboka kyonna okujjawo obukosefu obwo. Singa mba newala okuzimba enkolagana nate, k'ekabonero akalaga nti ddala sejjusa kiki kyenakora.

4. Endowoza n'ebikolwa bippy

Nga mazze okuva mu kibbi nzira eri Katonda ky'ayagala. N'ekebera endowoza yange ne neyisa yange era ntandika okulowoza n'okutambulila ku bigendelerwa bya Katonda. Musaaba okumpanilira nga nkora bwentyo.

Mukusembayo buzza: Nkakasa nti Katonda ansonyiye olw'ekibbi kinno?
Eky'okudamu kyo bwekiba nti nedda, awo nonya kubuyambi bw'omuyambi.

Bwetwatula ebibi byaffe, Ye mwesigwa era mwenkanya era ajjakutusonyiwa ebibbi byaffe era atutukuze okuva mubutali butukilivu. (1 Yokaana 1:9)

Ebisingawo

Remorse
If I try to omit a step it’s a sign that I don’t really regret all of what I did.
Okukozisa obuyambi bw'omuyambi
Kulwaffe ffeka kiberanyo kizibu okuyita mu mitendera nga bwejetagisa mu kwenenya. Wekitukila ekibbi nga si kyakyama, kisala amanyi. Yensonga lwaki Yaakobo 5:16 etukubiliza obutayita mu mitendera gyinno jj'oka:“N'olw'ekyo mwatuligane nga ebibbi byamwe era musabilagane nga musobole okuwonyezebwa.”
Endowoza zaffe
Nga edobozzi ly'omunda, endowoza zaffe zisobola okutulabula nga tunatela okumennya eteka. Ziwagalwa n'ebiffo bye twakulilamu era nakiiki ekyatwalibwa nga “ekituffu” oba “ekikyamu”. Naye binno tebyetagisa okusinzila kuddala lya Katonda. Ekyo kitegeza nti tetusobola kwesigama ku ndowoza zaffe zokka. Ebisera ebimu endowoza zaffe zisobola okutuwa eby'obulimba, mubifo ebimu zisobola okwesulilayo ogwanagamba era nezitatulabula newankubadde nga kibbi mu maaso ga Mukama. Twetaga okw'ekebela ne Katonda bw'olaba ekintu kyonna ng'ekibbi leka endowoza zaffe n'empulira zaffe zikyusibwe okusinzila ku Ye.
Mubantu ki mwenyina okwatulila ekibbi?
Ekibbi kiyinna okwatulwa eri abantu abakosebwa kyo. Bwebaba nga bantu banji abakosebwa oba nga ekibbi kyange kyanzijja nekubuvunanyiziba bwange (okugeza. Nga omukulembeze), ninna okukyatula mu maaso ga buly'omu. Bwemba nga nasobya omuntu yenna mundowoza zange, ninna okukyatula eri Katonda wabula si kugenda eri omuntu oyo.
Bw'obba nga tokakasa ngeriki ntuffu, buzza omuntu oyo aly'okukuyamba.

Okw'ekebera

Soma Bagalatiya 5:19-21. Twala edakika biiri okubuza Mukama ebibuzo binno era bako by'owandika:

Mukama, Ludawa wensobeza gy'oli oba eri abalala?

Okuteka mu nkola

Bintu ki byenjagala okukolako mukusoka? Anni ayinza okunyamba mu kinno?
Kakasa butya bw'ogenda okweyongera yo!