Okuwonyezebwa
Katonda bweyatonda eggulu n'ensi tewaliwo ndwadde yade okuffa. Newankubade, okuva omuntu bweyajemera Katonda mukusoka, tufunye endwadde munsi. Enosiyengeri gyetwakolebwamu mukusoka era kulw'okwagala Kwe gyetuli, Katonda ayagala okuwonya era n'okukomyawo abantu. Kulwakino Ye yayina entekateka eyenjawulo, eyali okutusindikira omulokozi. Kumulokozi oyo Baibuli egamba:“Okuboneleze okutuletera emilembe kujabera ku Ye, era n'olw'ebiwundu Bye tuwonna” (Isaaya 53:5).
Omulokozi onno ye Yesu, Omununuzi. Bweyali kunsi, Yesu yawonya abantu banji (eky'okulabilako 5:17-26). Okusinzila kuntekateka ya Katonda, Yesu yaffa kulwaffe nga sadaka era n'azukira nate tusobole okufuna obulamu obujja. Newankubade takyali kunsi, akyali y'omu era akyayina amannyi gonna okuwonya abantu era n'okubasumulula. Atuyita okumugobelera era n'okugondera byeyagamba. Kinno kyekisinga obukulu mumaso ga Katonda, okukola okusalawo kwekukiliza ky'atuwa era netufuna okuwonyezebwa okwempulira n'okomumoyo.
Yesu ayita abagobelezi Be okusabira abalwade era atuwa amanyi okukola bwetutyo. “Olunaku luumu Yesu yayita abayigilizwa Be ekuumi n'ababili era n'abawa amanyi n'obuyinza okugoba emizimu era n'okuwonya endwade zoona. Awo n'abasindika okugenda okubulira buly'omu ku Bwakabaka bwa Katonda era n'okuwonya abalwade.” (Luuka 9:1-2)
Engeri eyokusaba (okwanjura)
- Soka obuuze omuntu: “Buuzibu ki ddala? Kiiki kyenina okusabira?”
Era buuza “Oyinna obulumi bwonna?” (kinno kiyamba nti oluvanyuma lw'okusaba osobole okumanya oba waliwo ekikyuse) - Nyonyora nti ogenda kusaba esara nyimpi mulinya lya Yesu eranga ogenda kubatekako emikono. Saaba olukisa lwabwe.
- Baatekeko emikono mungeri enunji.
- Nga osaba, yogera eri obulumi oba eri ekitundu ky'omubiri n'ebilala.
- Kuuma amaaso go nga magure nga osaaba osobole okulaba obanga waliwo ekitukawo.
- Saaba esala nyimpi. Okugeza nga ekigambo kimu nti “obulumi, genda mulinya erya Yesu! Amina.” kimara.
- Nga omazze okusaba, buuza omuntu oyo:“Oyina ky'owulide? Obulumi bulibutya kati?”
Osobora okukozesa ekigera kinno: “Okutandikira ku zero (tewali bulumic bwonna) okutuka ku kuumi (obulumi buyitilide), kyalikitya mukusoka? Kilikitya kati?”
Singa nga babade n'obulumi, basabe okwegezesa balabe nty'oba waliwo enkyukakyuka. - Weweyo okugenda mumaso n'okusaba. Ebisera ebisinga okuwona kujja ddala ku ddala oba nga wayisewo akasera mukusaba.
- Omuntu bw'afuna okuwonyezebwa: Mwebaze Yesu mwenna!
Binno bikulu:
- Okusaba “mu Linnya erya Yesu” tekitegeza kukozesa ngeri yabufusa. Kitegeza okuwa Yesu ekitibwa kulw'ekyo ky'akola era n'okukakasa nti oluvanyuma buly'omu eyetabyemu anamanya anni aletede okuwonyezebwa.
- Ekitono omu kubetabyemu ayina okubanga ayina okukiliza okwanamadala mu Yesu, nga yesiga nti Yesu asobola okuleta okuwonyezebwa. Okukiliza okwanamadala kulinga ebinywa: Gy'okoma okubikozesa, gyebikoma okweyongera amanyi. Bwobanga okyawulila obuzito bw'ekizibu ekimu, weweyo okusaba mubisera ebyenjawulo wamu n'abalala ebayina kubumanyilivu obusingawo mukusaba okokuwonyezebwa.
- Leka abantu babere begendeleza nga bagezako okukozesa omubili gwabwe, nga bwebayinza okutegela emibili gy'abwe okusinga. Singa omusawo ayina obujanjabi bweyabalagira, omusawo ayina okukakasa okuwonyezebwa era y'alina okuwa ebilagiro kukukomya obujanjabi obwo.
Singa okuwonyezebwa kulabikanga okutaja...
Okuwonyezebwa oba enkyukakyuka bulikisera tejilawo mangu ago nga mwakamala okusaba, ekitono enyo simundabika. Kinokiyinza okusinzira kulw'ensonga ezenjawulo:
Obutasonyiwa, ekibi (Yakobo 5:15-16), endya embi, obutafayo eri omubiligo, okusumbuyibwa oba okulumbibwa kw'emizimu, obutakiliza bwaffe (Mataayo 17:14-21), n'ebilala. Oba kiyinza okubera nti Katonda ayina ekisera ekyenjawulo (Yokanna11).
Mubisera ebimu nga ojjeko engeri ezzo, ensonga omuntu oyo gyagambye obw'olyawo sikyekizibu kyenyini. Ekisinga mu byonna kili kukuzula ekili emabega w'obubonero okusobola okukikwataganya. Kozesa esaala zinno nnya wamanga kukino:
Esaala nnya eziyamba
- “Katonda, bambi kola ekyo ekikuyimusa mumbera enno.”
- “Bambi ndagga ky'oyagala okunsomesa kumulundi gunno.”
- “Bambi mbikulira ensibuko oba ensonga y'obulwade bunno.”
- “Katonda, kiki kyenyina okukula?”
Buza omulwade obanga waliwo kyonna ekizze mundowoza ye. Katonda bw'abikula ekintu kyonna gyebali oba gy'oli, kwasaganya nakyo okusoka.
Enkwatagana mumasekati g'omubili n'omwoyo
Emeeme yaffe etegeza omubili gwaffe singa nga waliwo ekikyamu. N'olw'ekyo, ebizibu ebilabika bisobola okubera n'ekibiletera mubulamu bwaffe obwomunda eranga bubonero bubonero kukizibu kyenyini.
Mngeri eyo, waliwo okugasa kutononyo okw'okusaba okuwonyezebwa k'obuliwo. Wayinza okubawo enkyukakyuka mukusoka, naye obubonero bujjakukomawo nga wayise akasera. Wanno tulina okukwasaganya ekizibu ky'omumwoyo era bwetukola kinno, obubonero bw'obuliwo bujakugenda ddala ku ddala.
Ekika ky'obulwade ebisera ebisinga kituwa kukizibu eky'omumwoyo.
- Ekyokugeza obulumi munsingo
- Omulandila omubi gwandiba gunziza wansi oba nga nsitude obuzito bwabalala bwesitekadwa kutwara (Mataayo 11:30).
Naye tosalanga musonga mubwangu-bulikisera wegendereze okuwulila omwoyo omutukuvu era okwatagane n'abantu abalala mukwagala era n'okubagaliza ebirunji!